BusinessLocal News
ABATENDEKEBWA BOONOONE ERINYA LYO’OMUSUMBA ROBERT KAYANJA ESSIMU EBIBAZAALIDDE
ABATENDEKEBWA BOONOONE ERINYA LYO'OMUSUMBA ROBERT KAYANJA ESSIMU EBIBAZAALIDDE

Kkooti ya mwanga 11 Road e mmengo ekyagenda maaso nokubuuza kajjojijoojo webibuuzo Alex wakamala ngono ye.muvunaanwa owokutaano mu misango ejivunaanibwa abantu 9 nga bano basalimbira ewomusumha kayanja nokumwogerako ebitasaana nekigendererwa ekyokumuttattanya erinya lye.
Alex wakamala ayongedde okusanga obuzibu mu kuddamu ebibuuzo bwabuziddwa nti Oba ddala amanyi abantu abalala basatu beebabavunaana nabo mu musango guns.
Mu bantu bano abasatu.mulimu agrey kanene, Israel wasswa ne Jamie mwondha era bano abeegaanyi nti tabamanyi nti era yabalabira ku kkooti.
Kyokka omuwaabi wa gavt Jonathan muwaganya bwasabye kkooti nti Alex wakamala akube ku nnamba ze ssimu eya Agrey kanene ne wasswa Jamie ereese Amanya nti musajja wa ssenyonga.
Takomye okwo era alagidde Alex wakamala akube ku nnamba endala ebadde eya pastor Jackson ssenyonga naye abadde nayo.
Kyokka byonna yabadde abyegaanyi nti talina yadde gwabadde amanyi.
Kooti esigadde yeebuuza nti ennamba zino zajja zitya mu ssimu ye.
Bino nga tebinabaawo kkooti esoose kuwulira maloboozi agomuntu omu ategerekeseeko erya John Pantalewo ngono Ali nabamu kubavunaanibwa ngababuulira nokubatendeka ebigambo bye balina okukokozesa nga boonoonya erinya lyomusumba kayanja.
Era ono awulidwaako ngayogerera ddala mu ddoobozi lyomusumba Robert kayanja
Omusango guddamu nga 16 October 2025.
NICKSON BBALE
BULANGE MENGO




