BusinessLocal News
Akafubo e Owino: Abasuubuzi bagugulana ne KCCA, Poliisi eyingiddewo 14 bakwatiddwa
Akafubo e Owino: Abasuubuzi bagugulana ne KCCA, Poliisi eyingiddewo 14 bakwatiddwa

Abasuubuzi abakolera ku mulyango gwa Kaguta ku katale ka St. Balikuddembe (Owino) bakubye KCCA ne Poliisi nga bawakanya okuggalibwa kw’omulyango gwe babadde bakolerako. Kino kikomekkerezeddwako nga abantu 14 bakwatiddwa.
Bano baludde nga bagugulana n’omugagga Hamis Kiggundu oluvannyuma lw’okumenya ekitundu mu kifo mwe baali bakolera.
Entabwe y’okulwanagana etandise ku makya, abasuubuzi bwe basanze nga mu kifo mwe bakolera bakubyeewo ekibaati era n’omulyango gugaddwa. Ebyamaguzi byabwe bye babadde batundira mu kifo ekyo, KCCA yabitutte.
Abasuubuzi abaasigaddewo bategeezezza nti bannaabwe abamu bakwatiddwa, ne basalawo okulumba ku City Hall gye baategeerezeddwa nti batwaliddwa mu kkooti.
Twogeddeko n’abasuubuzi abatubulidde ku mbeera gye bayitamu mu kiseera kino nga bagamba nti basomoozeddwa nnyo.
Abalala beemulugunya ku mugagga Hamis Kiggundu, nga bagamba nti talina busaasizi naddala ku bantu abafuna empola.
Oluvannyuma, kitegeerekese nti waliwo entegeka ey’okutuuka ku nzikiriziganya wakati w’abasuubuzi ne KCCA.
Nickson Bbale
St. Balikuddembe Market




