Sports

Kiwanuka The(Killing Machine) and Thamsang to face off in the Clash for Africa fight

Ekibiina ekidukanya omuzannyo gw’ebikonde eby’ensimbi ki Uganda Professional boxing commission kitongoza olulwana wakati wa munauganda Shafik Kiwanuka nga agenda kutunka n’omu Zimbabwe Dube Tsamsang.

Olulwana luno lugende kubera lwa musipi gwa Africa ogwa World Boxing Organization African Title.

Ekibiina kino kitongoza olulwana olulala nga lugenda kubera wakati wa Munauganda Shafiq Kiwanuka nga etunka n’omuzimbabwe Tsamsanga.

Olulwana luno lugenda kuberayo nga 29 omwezi gwa November era lugenda kubera lwa musipi ogwa WBO Africa Heavy Weight Title nga lwakuyindira wali ku International University of EastAfrica e Kansanga.

Shafiq Kiwanuka agamba nti guno gwe gugenda okubera omukisa okuwandika ebyafayo mu muzannyo gw’ebikonde nga awangula ekisipi kino. Ono ayongeddeko nti agenda kukola okutendekebwa okumala okukuba Dube Tsamsang amuleke mu kubiro



Ate Pulezidenti wa UPBC Salim Uhuru agamba nti olulwana luno lugenda kutegekebwa ku mutindo gwa nsi yona okusikilira enwana endala okutegekebwa wano mu ggwanga.

Luno lwe lugenda okubera olulwana lwa Shafiq Kiwanuka olw’okusatu mu bikonde eby’ensimbi ng’ate Dube Tsamsang yakalwana enwana 15



Related Articles

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Marcus Gilbert Jersey 
Close
Close